2 Samuel 22
Oluyimba lwa Dawudi olw’Okutendereza
1 aAwo Dawudi n’ayimbira Mukama ebigambo eby’oluyimba luno, Mukama bwe yamulokola mu mukono gw’abalabe be ne mu mukono gwa Sawulo. 2 bN’ayogera nti,“Mukama lwe lwazi lwange, era ekigo kyange era omulokozi wange;
3 cKatonda wange lwe lwazi lwange, omwo mwe neekweka,
ye ngabo yange era amaanyi ge bwe bulokozi bwange.
Kye kiddukiro kyange, mwe nneekweka era ye mulokozi wange;
ggwe ondokola eri abantu ababi.
4 dNkaabira Mukama asaanidde okutenderezebwa,
n’andokola eri abalabe bange.
5 e“Amayengo ag’okufa ganzingiza;
embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
6 fEbisiba eby’amagombe byanneetooloola;
n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.
7 gMu nnaku yange nakoowoola Mukama;
nakoowoola Katonda wange.
Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;
n’okukaaba kwange kwamutuukako.
8 h“Ensi n’ekankana n’ejjugumira,
emisingi gy’eggulu ne ginyeenyezebwa,
ne gikankanyizibwa kubanga yali asunguwadde.
9 iOmukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze,
n’omuliro ne guva mu kamwa ke,
n’amanda agaaliko omuliro ne gava mu ye.
10 jYayabuluza eggulu n’akka wansi;
ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
11 kNe yeebagala kerubi n’abuuka,
n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
12Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga okuba enkuufiira,
n’ebire ebikutte okuba ekitaba ky’amazzi.
13 lOkumasamasa okwali mu maaso ge
kwayakisa amanda ag’omuliro.
14 m Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu;
Ali Waggulu Ennyo n’ayogera mu ddoboozi lye.
15 nYalasa obusaale n’asaasaanya abalabe
n’okumyansa okw’eggulu, n’abawangula.
16 oEbiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa
n’emisingi gy’ensi ne gyeruka
olw’okunenya kwa Mukama
n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo ze.
17 p“Yasinzira waggulu n’antwala
n’ansika mu mazzi amangi.
18Yamponya abalabe bange ab’amaanyi abankyawa,
abo abaali bansinza amaanyi.
19 qBannumba mu nnaku yange
naye Mukama n’ampanirira.
20 rYandeeta mu kifo ekigazi;
yandokola kubanga yansanyukira.
21 s“Mukama yampa empeera yange ng’obutuukirivu bwange bwe bwali;
n’ansasula ng’obulongoofu bwe ngalo zange bwe buli.
22 tNtambulidde mu kkubo lya Mukama,
era sivanga ku Katonda wange okukola ebitali bya butuukirivu.
23 uAmateeka ge gonna gaali mu maaso gange,
era ssaava ku biragiro bye.
24 vSizzanga na musango mu maaso ge,
era neekuumye eri obutali butuukirivu.
25 w Mukama kyavudde ansasula ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
era ng’obulongoofu bwange bwe buli mu maaso ge.
26“Eri abeesigwa weeraga okuba omwesigwa;
n’eri abatalina musango ne weeraga obutaba na musango;
27 xeri omulongoofu weeraga okuba omulongoofu
n’eri omukujjukujju ne weeraga okuba omukujjukujju okumusinga.
28 yOlokola abantu abawombeefu,
naye amaaso go ganoonya ab’amalala n’obakkakkanya.
29 zOli ttaala yange, Ayi Mukama
era Mukama wange yammulisiza mu nzikiza yange.
30Ku lulwe mpangula eggye,
era ku lwa Katonda wange mbuuka bbugwe.
31 aaEkkubo lya Katonda golokofu,
n’ekigambo kye kituukirira;
era ngabo eri abo bonna
abaddukira gy’ali.
32 abKubanga ani Katonda wabula Mukama,
era ani lwazi okuggyako Katonda waffe?
33Katonda kye kiddukiro kyange,
era alongoosa ekkubo lyange.
34 acEbigere byange abifuula okuba ng’eby’ennangaazi,
era ampanirira mu bifo ebya waggulu.
35 adAnteekateeka okulwana entalo,
era n’ansobozesa okulasa obusaale obw’ebikomo.
36 aeOmpadde engabo ey’obulokozi bwo,
ne weefeebya ne wessa wansi olyoke onfuule ow’ekitiibwa.
37 afOgaziyizza ekkubo mwe mpita,
n’obukongovvule bwange tebukoonagana.
38“Nagoba abalabe bange ne mbazikiriza,
so saakyuka kudda mabega okutuusa lwe baamalibwawo.
39 agNa babetentera ddala ne batayinza kuyimuka,
era bali wansi w’ebigere byange.
40 ahWampa amaanyi okulwana entalo,
n’oteeka abo abanjigganya wansi wange.
41 aiWaleetera abalabe bange okunziruka,
ne nsanyaawo abo abankyawa.
42 ajBaalindirira okuyambibwa naye ne wataba n’omu ababeera,
ne bakaabira Mukama, naye n’atabaanukula.
43 akNabasekulasekula ne bafuuka ng’enfuufu ey’oku nsi,
ne mbabetenta, ne mbalinnyirira ne bafuuka ng’ebitosi eby’omu nguudo.
44 al“Ondokodde mu nnumbagana ez’abantu bange,
n’onfuula omukulu w’amawanga;
abantu be saamanya be bampeereza.
45 amBannaggwanga bajja gye ndi nga beegayirira,
bwe bawulira eddoboozi lyange ne baŋŋondera.
46 anBonna baggwaamu omwoyo,
ne bajja nga bakankana okuva gye beekwese.
47 ao“Mukama mulamu! Olwazi lwange yeebazibwe.
Agulumizibwe Katonda wange, olwazi lwange, era obulokozi bwange.
48 apOyo ye Katonda ampalanira eggwanga,
era ateeka amawanga wansi wange;
49 aqanziggya mu balabe bange.
Wangulumiza okusinga abalabe bange,
n’ondokola okuva mu basajja abakambwe.
50 arKyenaava nkutenderezanga, Ayi Mukama Katonda, mu mawanga gonna,
era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
51 asKabaka we amuwadde obuwanguzi obw’amaanyi,
era alaze okwagala okutayogerekeka eri oyo gwe yafukako amafuta,
eri Dawudi n’ezzadde lye emirembe gyonna.”
Copyright information for
LugEEEE