Acts 4
Peetero ne Yokaana mu Lukiiko lw’Abayudaaya Olukulu
1 aAwo Peetero ne Yokaana baali bakyayogera eri abantu, bakabona, n’omukulu w’abakuumi ba Yeekaalu n’Abasaddukaayo ne bajja gye bali, 2 bnga basunguwadde nnyo okuwulira nga Peetero ne Yokaana bayigiriza abantu, ku bwa Yesu, okuzuukira mu bafu. 3 cNe bakwata Peetero ne Yokaana, naye olwokubanga obudde bwali buyise ne babaggalira mu kkomera okutuusa enkeera. 4 dKyokka abantu bangi ku abo abaali bawuliriza abatume ne bakkiriza, era omuwendo gw’abasajja bokka abakkiriza ne guba ng’enkumi ttaano!5 eEnkeera, abafuzi n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi. 6 fBaali ne Ana Kabona Asinga Obukulu, ne Kayaafa, ne Yokaana, ne Alegezanda n’abalala bangi abaalina oluganda ne Kabona Asinga Obukulu. 7Awo abatume bombi ne baleetebwa ne basimbibwa mu maaso g’Olukiiko. Ne bababuuza nti, “Buyinza ki oba linnya ly’ani kwe musinzidde okukola kino?”
8 gAwo Peetero bwe yajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Abafuzi, n’abakulembeze b’abantu, 9 hobanga tubuuzibwa nsonga ey’omusajja eyawonyezeddwa, 10 imutegeere mmwe mwenna n’abantu bonna mu Isirayiri, omusajja ono ayimiridde mu maaso gammwe mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi, gwe mwakomerera naye Katonda n’amuzuukiza, era kaakano mulamu.
11 j“ ‘Oyo ly’Ejjinja abazimbi lye baagaana,
lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’
12 kTewali mu mulala yenna bulokozi, era tewali linnya ddala na limu mu mannya gonna agaaweebwa abantu, wansi w’eggulu, mwetugwanira okulokolebwa.”
13 lAwo ab’Olukiiko bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yokaana, ate n’okutegeera ne bategeera nga tebaasoma, era nga si batendeke, ne beewuunya nnyo, ne bategeera ng’abasajja abo baabeeranga ne Yesu. 14Era bwe baalaba omusajja eyawonyezebwa ng’ayimiridde nabo, n’eky’okubaddamu ne kibabula. 15 mNe babalagira okugira nga babeera wabweru Olukiiko lubakubaganyeko ebirowoozo. 16 nAb’olukiiko ne beebuuzaganya nti, “Abasajja bano tubakole tutya? Kubanga tetuyinza kwegaana ekyamagero eky’amaanyi ekikoleddwa mu bo; buli muntu yenna mu Yerusaalemi akitegedde. 17Naye engeri gye tunaaziyizaamu ebigambo byabwe okwongera okusaasaana kwe kubalabula n’amaanyi baleme kuddayo kwogera na muntu yenna ku linnya lya Yesu.”
18 oNe babayita bakomewo mu Lukiiko, ne babalagira baleme kuddayo nate kwogera ku linnya lya Yesu. 19 pNaye Peetero ne Yokaana ne baddamu nti, “Mmwe muba musalawo obanga kituufu mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga okuwulira Katonda. 20Tetuyinza butayogera ku bintu bye twalaba, n’ebigambo bye twawulira.”
21 qAwo Olukiiko bwe lwamala okwongera okubatiisatiisa ne lubaleka ne bagenda, kubanga baabulwa kwe banaasinziira okubabonereza ne batasasamaza bantu. Kubanga abantu bonna baali bagulumiza Katonda olw’ekyo ekyabaawo. 22Omusajja eyawonyezebwa yali assussa mu myaka amakumi ana.
Okusaba kw’Abakkiriza
23Awo Peetero ne Yokaana bwe baateebwa ne baddayo eri bannaabwe ne bababuulira byonna bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya bye baabagamba. 24Bonna bwe baabiwulira ne bayimusiza wamu amaloboozi gaabwe n’omwoyo gumu eri Katonda ne basaba nti, “Ayi Mukama, Omutonzi w’eggulu n’ensi n’ennyanja ne byonna ebibirimu, 25 rggwe Kitaffe wayogerera ku bwa Mwoyo Mutukuvu mu kamwa k’omuweereza wo, Dawudi bwe yagamba nti:“ ‘Lwaki Abaamawanga banyiigidde,
n’abantu ne balowooza ebitaliimu?
26 sBakabaka b’ensi
n’abakulembeze,
beegatta okulwanyisa Mukama
n’okulwanyisa Kristo we.’
27 tKubanga baakuŋŋaanira mu kibuga. Kerode ne Pontiyo Piraato, awamu n’Abamawanga, n’Abayisirayiri, beegatta okulwanyisa Omuweereza wo Omutukuvu Yesu gwe wafukako amafuta, 28 une bakola ebyo omukono gwo n’okuteesa kwo bye kwateekateeka edda okubaawo. 29 vNe kaakano, Ayi Mukama, wulira okutiisatiisa kwabwe; owe abaddu bo obuvumu babuulire ekigambo kyo, 30 wgolola omukono gwo owonye, n’obubonero n’ebyamagero bikolebwenga mu linnya ly’Omuweereza wo Omutukuvu Yesu.”
31 xAwo bwe baamala okusaba, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kinyeenyezebwa, bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ne babuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu.
Abakkiriza Okugabanira Awamu Ebyabwe
32 yAbakkiriza bonna baalina omwoyo gumu n’omutima gumu; nga tewali agamba nti kino kye nnina kyange ku bwange, wazira nga bonna bagabanira wamu. 33 zAwo abatume ne babuulira nnyo n’amaanyi mangi ku kuzuukira kwa Mukama waffe Yesu, era bonna ne bajjula ekisa kingi. 34 aaMu bo temwali baali mu kwetaaga, kubanga abo abaalina ettaka oba amayumba, baabitundanga, ensimbi ezivudde mu bye batunze 35 abne bazireeta ku bigere by’abatume bagabireko buli muntu ng’okwetaaga kwe bwe kwalinga.36 acAwo Yusufu, Omuleevi abatume gwe baatuuma Balunabba (amakulu gaalyo nti atereeza emitima gy’abantu) eyazaalibwa e Kupulo, 37 adn’atunda ennimiro ye, ensimbi ezaavaamu n’azireeta ku bigere by’abatume.
Copyright information for
LugEEEE