Exodus 27
Ekyoto
1 a“Zimba ekyoto mu miti gya akasiya, obugulumivu mita emu ne desimoolo ssatu, n’obuwanvu mita bbiri ne desimoolo ssatu, ate obugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu. 2 bEra ku nsonda zaakyo ennya kolerako amayembe; ng’ekyoto n’amayembe bibajjiddwa bumu mu muti gumu; ekyoto kyonna olyoke okibikkeko ekikomo. 3Kola ebbakuli omunaayoolerwanga evvu lyakyo, n’ebisena evvu, n’ebbensani, n’ewuuma z’ennyama, ne fulampeni; ebyo byonna nga bikolebwa mu kikomo. 4Ekyoto kikolere ekitindiro eky’obutimba eky’ebyuma eby’ekikomo; ku nsonda ennya ez’ekitindiro olyoke okolereko empeta nnya ez’ekikomo. 5Leebeeseza ekitindiro ekyo mu kyoto, nga waggulu kinyweredde ku muziziko ne kireebeeta okukoma wakati ng’ekyoto bwe kikka. 6Kola emisituliro gy’ekyoto mu muti gwa akasiya, ogibikkeko ekikomo. 7Emisituliro egyo ogiyingize mu mpeta ennya, gibeere ku njuyi zombi ez’ekyoto nga kibadde kisitulwa okubaako gye kitwalibwa. 8 cEkyoto kikole n’embaawo, nga wakati kya muwulukwa. Okikole nga bwe kyakulagibwa ku lusozi.Oluggya
9“Eweema ya Mukama gikolere oluggya. Ku ludda olwa ddyo oluggya lubeere mita amakumi ana mu mukaaga obuwanvu, era nga lulina amagigi aga linena omulebevu alangiddwa, 10n’entobo amakumi abiri n’ebikolo ebikondo mwe bituula eby’ekikomo amakumi abiri; nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza. 11Ne ku ludda olwakkono oluggya lubeere mita ana mu mukaaga obuwanvu, era ebeeyo amagigi n’ebikondo amakumi abiri, n’entobo zaabyo eby’ekikomo amakumi abiri, nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza.12“Ku ludda olw’obugwanjuba oluggya lubeere mita amakumi abiri mu ssatu obugazi, era lubeere n’amagigi n’ebikondo kkumi awamu n’entobo zaabyo kkumi. 13Ku ludda olw’ebuvanjuba, enjuba gy’efulumira, nayo oluggya lubeere mita amakumi abiri mu ssatu obugazi. 14Ku ludda olumu olw’omulyango kubeereko amagigi mita mukaaga ne desimoolo mwenda obuwanvu, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu, 15ne ku ludda olulala nakwo kubeereko amagigi mita mukaaga ne desimoolo mwenda obuwanvu, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu.
16“Mu mulyango oguyingira mu luggya wanikamu eggigi mita mwenda obuwanvu, nga lya wuzi za bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena endebevu ennange, nga bikolebwa omutunzi omukugu, era ng’eggigi lirina ebikondo bina n’entobo zaabyo nnya. 17Ebikondo byonna mu luggya bibeere n’emikiikiro gya ffeeza, n’amalobo ga ffeeza, n’entobo za kikomo. 18Oluggya lubeere mita amakumi ana mu mukaaga obuwanvu, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’amagigi aga linena endebevu ennange, mita bbiri ne desimoolo ssatu obugulumivu, n’entobo ez’ekikomo. 19Ebintu ebirala byonna ebinaakozesebwa ku mirimu gya Weema egya buli ngeri, ng’otaddeko n’obukondo obukomerera Weema n’obw’omu luggya, byonna bibeera bya kikomo.
Amafuta g’Ettaala
20“Lagira abaana ba Isirayiri bakuleetere amafuta ag’emizeeyituuni amalungi ennyo ag’okukozesa mu ttaala, eryoke eyakenga obudde bwonna nga tezikira. 21 dMu kisenge kya Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ebweru w’eggigi eribisse Endagaano, awo Alooni ne batabani be we banaabeeranga nga balabirira ettaala eyakirenga awali Mukama okuva olweggulo okutuusa mu makya. Lino libeere tteeka abaana ba Isirayiri lye banaakwatanga emirembe gyonna.”
Copyright information for
LugEEEE