‏ Exodus 29

Okwawula Bakabona

1“Bino by’onookola okwawula Alooni ne batabani be okubafuula bakabona balyoke bampeereze. Ojja kulaba ente ya seddume emu ento, n’endiga ennume ento bbiri, zonna nga teziriiko kamogo. 2 aEra onookola mu buwunga bw’eŋŋaano ennungi emigaati egitaliimu kizimbulukusa, ne zikkeeke enkole n’amafuta ag’omuzeeyituuni ezitali nzimbulukuse, n’obusukuuti obw’oluwewere obutaliimu kizimbulukusa naye nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni. 3Obiteeke mu kibbo kimu obireete awamu n’ente n’endiga ebbiri. 4 bLeeta Alooni ne batabani be ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, obanaaze n’amazzi. 5 cDdira ebyambalo, oyambaze Alooni ekkooti, n’ekyambalo ekiri ng’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ekyomukifuba, omusibeko omusipi gw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ogwalukibwa n’amagezi amangi; 6 domusibe n’ekitambaala ku mutwe olyoke otereeze bulungi engule entukuvu ku kitambaala eky’oku mutwe. 7 eDdira amafuta ag’okwawula ogafuke ku mutwe gwe, omwawule. 8Leeta batabani be obambaze amakooti, 9 fobasibeko emisipi, obambaze n’enkuufiira; olwo nga bafuuka bakabona emirembe gyonna ng’ekiragiro bwe kigamba. Bw’otyo bw’onooyawula Alooni ne batabani be.

Ekiweebwayo olw’Ebibi

10“Onooleeta ente eyo ento mu maaso g’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Alooni ne batabani be banaagikwatako ku mutwe, 11n’olyoka ogittira awo awali Mukama ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 12 gOnoddira omusaayi ogw’ente eyo omutonotono, n’ogusiiga n’olugalo lwo ku mayembe ag’oku kyoto; omusaayi ogunaasigalawo oguyiwe wansi w’ekyoto. 13 hOnoddira amasavu gonna ag’oku byenda n’ogabikka ku kibumba n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, obyokere ku kyoto. 14 iNaye ennyama y’ente eyo n’eddiba lyayo, n’obusa bwayo, byokere ebweru w’olusiisira. Ekyo ky’ekiweebwayo olw’ekibi.

Ekiweebwayo Ekyokye

15“Kwata endiga zombi, Alooni ne batabani be banaakwatanga ku mutwe gw’endiga emu; 16otte endiga eyo, n’oddira omusaayi gwayo n’ogumansa buli wantu ku kyoto. 17Onoosalaasala endiga eyo mu bifi, onaaze eby’omunda byayo n’amagulu gaayo; obisse wamu n’ebifi n’omutwe, 18 jendiga yonna ogyokere ku kyoto. Ekyo ky’ekiweebwayo eri Mukama ekyokye, eky’akawoowo akasanyusa, nga kiweebwayo ku muliro eri Mukama.

Ekiweebwayo ku Kwawulibwa

19 k“Onoddira endiga endala, Alooni ne batabani be ne bassa emikono ku mutwe gwayo; 20onoogitta, n’oddira ku musaayi gwayo n’ogusiiga ku kasongezo k’okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku busongezo bw’amatu ga batabani be aga ddyo, ne ku binkumu by’emikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere byabwe ebisajja ebya ddyo; omusaayi ogunaasigalawo ogumansire ku kyoto okukyetooloola. 21 lOnoddira ku musaayi oguli ku kyoto, oddire ne ku mafuta ag’okwawula, obimansire ku Alooni ne ku byambalo bye, era ne ku batabani be ne ku byambalo byabwe. Bw’atyo Alooni ne batabani be bajja kutukuzibwa awamu n’ebyambalo byabwe.

22“Onoggya ku ndiga eyo amasavu, n’omukira omusava, n’amasavu agabikka eby’omu lubuto ne ku kibumba, n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko, n’ekisambi ekya ddyo; kubanga eyo y’endiga ey’okukozesa mu kwawula bakabona. 23Era olabe mu kibbo ekirimu ebitali bizimbulukuse ebiri awali Mukama oggyemu omugaati gumu, ne keeke emu okuli amafuta ag’omuzeeyituuni, n’akasukuuti ak’oluwewere; 24 mebyo byonna obikwase Alooni ne batabani be, babiwuubire awali Mukama ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa. 25Onoobibaggyako, n’obyokera ku kyoto ng’obyongera ku kiweebwayo ekyokebwa, mulyoke muveemu akawoowo akalungi akasanyusa Mukama; kye kiweebwayo eri Mukama ekyokye mu muliro. 26 nEra onoddira ekifuba ky’endiga y’okwawulibwa kwa Alooni, okiwuube ng’ekiweebwayo eri Mukama ekiwuubibwa; ogwo gwe gunaaba omugabo gwo. 27 oOnootukuza ekifuba eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’ekisambi eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’ekisambi eky’omugabo gwa bakabona era nga nakyo kiwuubibwa ekiva ku ndiga y’okwawulibwa, nga bwe guli omugabo gwa Alooni ne batabani be. 28 pGunaabanga mugabo gwa Alooni ne batabani be, nga guva mu baana ba Isirayiri emirembe gyonna; kubanga gwe mugabo gwa bakabona ogunaavanga ku kiweebwayo ky’abaana ba Isirayiri eky’emirembe, nga kye kiweebwayo kyabwe eri Mukama.

29 q“Ebyambalo bya Alooni ebitukuvu, batabani be, be banaabisikiranga, era mwe banaafukirwangako amafuta, era mwe banaayawulirwanga. 30 rOmwana anaabanga azze mu bigere bya Alooni nga kabona, anaabyambaliranga ennaku musanvu, bw’anajjanga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu okuweereza mu Kifo Ekitukuvu.

Emmere ku Kwawulibwa

31“Ojja kuddira endiga y’okwawulibwa, ofumbe ennyama yaayo mu kifo ekitukuvu; 32 sAlooni ne batabani be balye ku nnyama y’endiga eyo, ne ku mugaati oguli mu kibbo, nga bali ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 33 tBanaalya ku ebyo ebikozesebbwa ku mukolo ogw’okusonyiyibwa kwabwe lwe batukuzibwa era lwe bayawulirwako. Naye atali kabona tabiryangako, kubanga bitukuvu. 34 uEra singa ku nnyama y’okwawula ne ku migaati wasigalawo ebiremye okutuusa enkeera, byonna byokebwanga bwokebwa; tewabanga abirya, kubanga bitukuvu.

35“Bwe kutyo okwawulibwa kwa Alooni ne batabani be bw’onookukola nga bwe nkulagidde. Omukolo gwonna gujja kumala ennaku musanvu; 36 vera buli lunaku ojja kuwaayo seddume y’ente emu ng’ekiweebwayo olw’ekibi, olw’okusonyiyibwa. Waayo ekiweebwayo olw’okulongoosa ekyoto, okifukeko amafuta, okitukuze. 37 wOjja kumala ennaku musanvu ng’owaayo ekiweebwayo olw’okulongoosa ekyoto, okitukuze; era ekyoto kijja kubeera kitukuvu nnyo, buli ekinaakikomangako nga nakyo kifuuka kitukuvu.

Ekyoto eky’Ebiweebwayo Ebyokebwa

38 x“Bino by’onoowangayo ku kyoto buli lunaku: onoowangayo endiga ento bbiri ez’omwaka ogumu. 39 yEndiga emu onoogiwangayo mu makya, ne ginnaayo n’ogiwaayo akawungeezi. 40Endiga esooka onoogiwaayo ne lita bbiri ez’obuwunga obulungi, nga butabuddwamu lita ng’emu ey’amafuta ge zeyituuni, n’oteekerako ne lita emu ey’envinnyo nga ky’ekiweebwayo ekyokunywa. 41Endiga eyookubiri onoogiwaayo akawungeezi awamu n’obuwunga n’ebyokunywa nga bw’onooba okoze mu makya, ne biryoka bivaamu akawoowo akalungi akasanyusa ak’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.

42 z“Mu mirembe gyonna egigenda okujja, ekiweebwayo kino ekyokebwa kinaaweebwangayo eri Mukama obutayosa, mu mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Awo we nnaakusanga ne njogera naawe. 43 aaEra awo we nnaasisinkana abaana ba Isirayiri, ekifo ekyo ne kitukuzibwa nga kijjudde ekitiibwa kyange.

44 ab“Bwe ntyo nnaatukuza Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, era Alooni ne batabani be nabo nnaabatukuza, bampeereze nga bakabona. 45 acBwe ntyo ndyoke mbeere mu baana ba Isirayiri era mbeere Katonda waabwe. 46 adAwo banaamanya nga nze Mukama Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri ndyoke mbeerenga mu bo. Nze Mukama Katonda waabwe.”

Copyright information for LugEEEE