‏ Exodus 30

Ekyoto ky’Obubaane

1 a“Onookola ekyoto mu miti gya akasiya, okwoterezangako obubaane. 2 bKya kwenkanankana, sentimita amakumi ana mu ttaano buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi; era kinaabeera n’obugulumivu bwa sentimita kyenda. Kubeeko amayembe amakole mu muti ogw’ekyoto nga si mayungeko buyunzi. 3Ekyoto okiteekeko zaabu kyonna, waggulu ne mu mbiriizi, ne ku mayembe. Era kikolereko omuge ogwa zaabu okukyetooloola. 4Wansi w’omuge, mu mbiriizi z’ekyoto zombi, kolerawo empeta bbiri eza zaabu, okuyisaamu emisituliro gyakyo nga waliwo gye kitwalibwa. 5Emisituliro ogikole mu muti gwa akasiya, era ogiteekeko zaabu. 6 cEkyoto kitereeze mu maaso g’eggigi awali essanduuko ey’endagaano, awali ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, ekiri ku Ndagaano; awo we nnaakusisinkana.

7 d“Alooni anaayotezanga obubaane buli nkya, bw’anajjanga okulongoosa ettaala. 8Era Alooni bw’anajjanga okukoleeza ettaala akawungeezi, anyookezenga obubaane mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna. 9 eKu kyoto kino tojja kwoterezaako bubaane bulala, wadde ekiweebwayo ekyokebwa, newaakubadde eky’eŋŋaano era tojja kufukako ekiweebwayo eky’ekyokunywa. 10 fAlooni anaakolanga omukolo ogw’okulangiririra ku mayembe gaakyo omulundi gumu mu buli mwaka. Okulongoosa kuno okwa buli mwaka kunaakolebwanga n’omusaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja. Ekyoto kya Mukama kino kitukuvu nnyo.”

Ebiweebwayo mu Weema ya Mukama

11Awo Mukama n’agamba Musa nti, 12 g“Bw’onoobalanga abaana ba Isirayiri, buli gw’onoobalanga anaasasulanga omuwendo eri Mukama olw’okununula obulamu bwe mu kiseera mw’abaliddwa, kawumpuli aleme okubagwamu. 13 hBuli abalibwa ne yeegatta ku bamaze okubalibwa, anaawaangayo gulaamu mukaaga eri Mukama, ng’okubala okw’Awatukuvu okutongole bwe kuli. Sekeri emu yenkanankana ne gera amakumi abiri. Gulaamu omukaaga zinaaweebwangayo ng’ekiweebwayo eri Mukama. 14Bonna abeegatta ku bamaze okubalibwa, okuva ku b’emyaka amakumi abiri egy’obukulu, n’okweyongerayo, anaawaayo ekiweebwayo ekyo eri Mukama. 15 iAbagagga tebaawengayo kusussa kitundu kya sekeri, n’omwavu taawengayo kitatuuka kitundu kya sekeri bwe munaawangayo ekiweebwayo eri Mukama olw’okwetangirira obulamu bwammwe. 16 jEnsimbi abaana ba Isirayiri ze banaakuwa onoozikozesanga ku mirimu gy’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kinaabanga ekijjukizo mu maaso ga Mukama, olw’okwetangirira obulamu bwammwe.”

Ebbensani Omunaabirwa

17Awo Mukama n’agamba Musa nti, 18 k“Onookola ebbensani enaabirwamu nga ya kikomo ne ky’etuulako nga kya kikomo. Giteeke wakati w’ekyoto n’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu; osseemu amazzi. 19 lAlooni ne batabani be ge banaakozesanga okunaaba engalo zaabwe n’ebigere byabwe. 20Bwe banaabanga bagenda okuyingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, banaanaabanga amazzi, baleme okufa. Era ne bwe banajjanga ku kyoto okuweereza nga bawaayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokye n’omuliro, 21 mbanaanaabanga engalo zaabwe n’ebigere byabwe, baleme okufa. Kino kinaabanga kiragiro eky’olubeerera eri Alooni n’ezzadde lye emirembe gyonna.”

Amafuta ag’Okusiiga

22Awo Mukama n’agamba Musa nti, 23 n“Ddira ebyakawoowo bino eby’omuwendo: Kiro mukaaga ez’omugavu omuyenge omuka, ne kiro ssatu eza kinamoni, ne kiro ssatu eza kalamu omuwoomerevu; 24 one kiro mukaaga eza kasiya, ne lita nnya ez’amafuta g’omuzeeyituuni; ng’ebipimo by’obuzito bw’omu Watukuvu bwe biri. 25 pBino byonna obikolemu amafuta amatukuvu ag’okusiiga, nga bigattikibbwa bulungi ng’ebikoleddwa omutabuzi w’eby’akawoowo, ne galyoka gabeera amafuta amatukuvu ag’okufukibwangako. 26 qOlyoke osiige n’amafuta ago Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’Essanduuko ey’Endagaano, 27n’emmeeza n’ebibeerako byonna, n’ekikondo ky’ettaala n’ebyakyo byonna, n’ekyoto eky’obubaane, 28n’ekyoto eky’ekiweebwayo ekyokebwa n’ebikozesebwako, n’ebbensani ne kw’etuula. 29 rObyawule bifuuke bitukuvu nnyo, era buli ekinaabikomangako nga nakyo kifuuka kitukuvu.

30 s“Alooni ne batabani be onoobafukako amafuta, obaawule, balyoke bampeerezenga nga bakabona. 31Era abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Gano ge ganaabanga amafuta gange amatukuvu ag’okufukibwangako, mu mirembe gyammwe gyonna. 32 tTegajjanga kufukibwa ku bantu ba bulijjo; era tewabangawo amafuta amalala agatabulwa mu ngeri eno. Gano matukuvu, era mujjukirenga nti matukuvu. 33 uOmuntu yenna anaakolanga amafuta ga kalifuuwa okufaanana ne gano, oba anaafukanga gano ku muntu yenna atali kabona, anaawaŋŋangusibwanga, n’ava mu bantu b’ewaabwe.’ ”

Ebyakaloosa

34Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ddira ebyakaloosa bino eby’omuwendo ennyo: sitakite, n’onuka, ne galabano, n’obubaane obuka, nga byenkanankana obuzito, 35 vOkolemu ebyakaloosa eby’omuwendo, bibe ng’ebikoleddwa omukugu w’ebyakaloosa. Obiteekemu omunnyo bibeere birongoofu era nga bitukuvu. 36 wOnoggyako ekitundu n’okisa ne kifuuka lufufugge, n’okiteeka okwolekera Essanduuko ey’Endagaano mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, awo we nnaakusisinkananga. Ekyo kinaabeeranga kitukuvu nnyo, gy’oli. 37 xTemwekoleranga ebyakaloosa ebyammwe ku bwammwe mu ntabula eno; bino binaabanga bitukuvu era nga bya Mukama. 38 yOmuntu yenna alikola ebibifaanana yeesanyuse olw’akaloosa kaabyo, anaawaŋŋangusibwanga, n’ava mu bantu b’ewaabwe.”

Copyright information for LugEEEE