‏ Exodus 32

Ennyana eya Zaabu

1 aAbantu bwe baalaba nga Musa aluddeyo nnyo ku lusozi, ne bakuŋŋaanira awali Alooni, ne bamugamba nti, “Jjangu, otukolere bakatonda abanaatukulembera; kubanga Musa ono eyatuggya mu nsi y’e Misiri, tetumanyi kimutuuseeko.”

2 bAlooni n’abaddamu nti, “Mwambule empeta eza zaabu, bakyala bammwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe ze bambadde ku matu gaabwe, muzindeetere.” 3Awo abantu bonna ne beenaanulako empeta zaabwe eza zaabu ez’oku matu, ne bazireetera Alooni. 4 cAlooni n’azisaanuusa; zaabu eyavaamu n’agibumbamu ennyana, ng’agirongoosa n’ekyuma. Ne balyoka boogera nti, “Bano be bakatonda bo ggwe Isirayiri abaakuggya mu nsi y’e Misiri!”

5 dAlooni bwe yalaba ebyo, n’azimba ekyoto mu maaso g’ennyana, n’alyoka alangirira nti, “Enkya tujja kukolera Mukama embaga.” 6 eAwo enkeera, abantu ne bazuukuka mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ne baleeta n’ebiweebwayo olw’emirembe; ne batuula ne balya era ne banywa, ne basituka ne bakola effujjo.

7 f Mukama n’agamba Musa nti, “Serengeta, kubanga abantu bo be waggya mu nsi ey’e Misiri boonoonye; 8 gbavudde mangu mu kkubo lye nabalagira; beekoledde ennyana ensaanuuse ne bagisinza, ne bagireetera ebiweebwayo, ne boogera nti, ‘Bano be bakatonda bo, ggwe Isirayiri, abaakuggya mu nsi y’e Misiri!’ ”

9 h Mukama n’agamba Musa nti, “Abantu bano mbalabye, era ndabye nga bakakanyavu. 10 iKale, kaakano ndeka obusungu bwange bubabuubuukireko, mbazikirize; kyokka ggwe ndikufuula eggwanga ekkulu.”

Musa Yeegayirira Katonda

11 jNaye Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n’agamba nti, “Lwaki obusungu bwo bubuubuukira abantu bo be waggya mu nsi y’e Misiri n’obuyinza, awamu n’omukono gwo ogw’amaanyi? 12 kLwaki okwogeza Abamisiri nti, ‘Yabatwala ng’agenderedde kubakola kabi, abattire mu nsozi, abazikirize, bave ku nsi?’ Nyiigulukuka, obusungu obubuubuuka bukuveeko, oleme kuleeta bulabe ku bantu bo. 13 lJjukira abaweereza bo Ibulayimu, ne Isaaka, ne Isirayiri, be walayirira ggwe kennyini, n’obagamba nti, ‘Ndyaza bazzukulu bammwe ng’emmunyeenye ez’oku ggulu, era n’ensi eno gye mbasuubizza ndigiwa bazzukulu bammwe, era eribeera omugabo gwammwe ennaku zonna.’ ” 14 mMukama akabi ke yali ategese okukola abantu be n’atakaleeta.

Musa Azikiriza Ennyana

15 nAwo Musa n’aserengeta okuva ku lusozi ng’akutte mu mikono gye ebipande ebibiri eby’Endagaano, nga biwandiikiddwako ku njuyi zombi. 16 oEbipande byakolebwa Katonda, n’ebiwandiike ebyaliko byali bya Katonda, nga ye yabisala ku bipande ebyo.

17Yoswa bwe yawulira oluyoogaano lw’abantu nga baleekaana, n’agamba Musa nti, “Mu lusiisira eriyo okuyoogaana ng’okw’olutalo.”

18Naye n’amuddamu nti,

“Siwulira maloboozi galeekaana olw’obuwanguzi,
oba amaloboozi g’okwaziirana olw’okuwangulwa,
naye maloboozi ga kuyimba ge mpulira.”
19 pNaye Musa bwe yasemberera olusiisira, n’alengera ennyana, n’alaba n’amazina; obusungu bwe ne bubuubuuka, n’asuula eri ebipande ebyali mu mikono gye, ne bimenyekera awo wansi w’olusozi. 20 qN’addira ennyana gye baali bakoze n’agyokya mu muliro n’agisekulasekula, n’agimerungulira ddala ng’olufuufu; olufuufu n’alumansa ku mazzi n’agawa abaana ba Isirayiri ne baganywa.

21Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Abantu bano baakukoze ki, n’obaleetera okwonoona ennyo bwe batyo?”

22 rAlooni n’amuddamu nti, “Tonnyiigira nnyo, mukama wange, naawe abantu bano obamanyi, ng’emitima gyabwe bwe gyamanyiira okwonoona. 23 sBaŋŋambye nti, ‘Tukolere bakatonda abanaatukulembera kubanga Musa ono eyatuggya mu nsi y’e Misiri, tetumanyi kimutuuseeko.’ 24 tNange kwe kubagamba nti, ‘Buli alina ebya zaabu abyeyambuleko,’ ne babimpa ne mbiteeka mu muliro, ne bivaamu ennyana eno.”

Abantu Abattibwa Abaleevi

25Awo Musa bwe yalaba ng’abantu basasamadde, nga Alooni yali abalese ne basasamala, era ng’abalabe baabwe babasekerera, 26n’ayimirira mu mulyango gw’olusiisira, n’agamba nti, “Ani ali ku ludda lwa Mukama? Ajje wano we ndi.” Awo batabani ba Leevi bonna ne bakuŋŋaanira w’ali. 27 uN’abagamba nti, “Bw’ati Mukama Katonda wa Isirayiri bw’ayogera nti, ‘Buli musajja yeesibe ekitala kye mu kiwato kye, muyiteeyite mu nsiisira okuva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala, nga buli musajja atta muganda we ne mukwano gwe, ne muliraanwa we.’ ” 28Abaleevi ne bakola nga Musa bwe yabalagira; era ku lunaku olwo abantu ng’enkumi ssatu ne battibwa. 29Awo Musa n’agamba nti, “Mwawuddwa leero eri Mukama, bwe musse buli omu mutabani we, era ne muganda we; Mukama abawadde omukisa ku lunaku lwa leero.”

30 vEnkeera Musa n’agamba abantu nti, “Mwonoonye nnyo. Naye nze ka ŋŋende eri Mukama ndabe obanga nnaatangiririra ekibi kyammwe.” 31 wBw’atyo Musa n’addayo eri Mukama, n’agamba nti, “Kitalo! Abantu bano nga boonoonye nnyo; bwe beekoledde bakatonda aba zaabu! 32 xBw’oba osiima basonyiwe ekibi kyabwe; naye bwe kitaba kityo, nkwegayirira onsangule mu kitabo kyo ky’owandiise.”

33 yNaye Mukama n’agamba Musa nti, “Oyo yekka ankozeeko ekibi gwe ndisangula mu kitabo kyange. 34 zKaakano genda otwale abantu mu kifo ekyo kye nakutegeeza; era, laba, malayika wange ajja kukukulembera. Naye ekiseera nga kituuse okubabonereza ndibabonerereza ddala olw’ekibi kyabwe.”

35 aaAwo Mukama n’aleetera abantu kawumpuli, kubanga beekolera ennyana, Alooni gye yababumbira.

Copyright information for LugEEEE