Joshua 12
Bakabaka Abaawangulwa
1 aBano be bakabaka b’ensi Abayisirayiri be baawangula era bannyini nsi Abayisirayiri gye baatwala eri ebuvanjuba bwa Yoludaani, okuva ku kiwonvu ekya Alunoni okutuuka ku lusozi Kerumooni, ne Alaba yonna ku luuyi olw’ebuvanjuba.2 bSikoni kabaka w’Abamoli eyafuga mu Kesuboni, okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu ekya Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’ekitundu ekya Gireyaadi, okutuuka ku mugga Yaboki, y’ensalo y’abaana ba Amoni; kino ng’ogasseeko n’ekitundu Gireyaadi,
3 cne Alaba okutuuka ku nnyanja Kinnerosi, ku luuyi olw’ebuvanjuba, ne ku Nnyanja ya Araba y’Ennyanja ey’Omunnyo ku luuyi olw’ebuvanjuba mu kkubo ery’e Besu Yesimosi, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo wansi w’olusozi Pisuga,
4 dne ku nsalo ya Ogi kabaka w’e Basani, omu ku baasembayo ku ba Balefa eyafuganga mu Asutaloosi ne mu Ederei.
5 eEra ye yali afuga olusozi Kerumooni ne Saleka ne Basani yenna okutuuka ku nsalo ey’Abagesuli, n’Abamaakasi, n’ekitundu kya Gireyaali, ensalo ya Sikoni kabaka we Kesuboni.
6 fMusa omuweereza wa Mukama n’abaana ba Isirayiri babawangula, era ensi yaabwe Musa omuweereza wa Mukama n’agiwa Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase.
7 gBano be bakabaka b’ensi, Yoswa n’abaana ba Isirayiri be baawangula ku luuyi lw’ebugwanjuba olwa Yoludaani okuva ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni okutuuka ku lusozi Kalaki okwambuka okutuuka e Seyiri. Yoswa yagiwa ebika bya Isirayiri bigigabane nga bwe byali byayawulwamu.
8 ▼
24 ▼In order to format the table contained in this verse correctly, it has been necessary to move the content of some adjacent verses into it.
,
iMu nsi ey’ensozi, ne mu nsi ey’ensenyi ne mu Alaba ne ku bitundu ebya wansi ku nsozi, ne mu ddungu ne mu nsi ey’obugwanjuba mu Negevu, ensi ez’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Omukiivi, n’Omuyebusi.9 jKabaka w’e Yeriko | omu, |
ne kabaka w’e Ayi ekiriraanye Beseri | omu, |
10 kne kabaka w’e Yerusaalemi | omu, |
ne kabaka w’e Kebbulooni | omu, |
11ne kabaka w’e Yalamusi | omu, |
ne kabaka w’e Lakisi | omu, |
12 ln’ow’e Egulooni | omu, |
n’ow’e Gezeri | omu, |
13ne kabaka w’e Debiri | omu, |
n’ow’e Gederi | omu, |
14 mn’ow’e Koluma | omu, |
n’ow’e Yaladi | omu, |
15n’ow’e Libuna | omu, |
n’ow’e Adulamu | omu, |
16 nn’ow’e Makkeda | omu, |
n’ow’e Beseri | omu, |
17 one kabaka ow’e Tappua | omu, |
n’owe Keferi | omu, |
18 pn’ow’e Afeki omu n’ow’e Lasaloni | omu, |
19n’ow’e Madoni | omu, |
n’ow’e Kazoli | omu, |
20 qne kabaka w’e Simuloni Meroni | omu, |
ne kabaka w’e Akusafu | omu, |
21n’ow’e Taanaki | omu, |
n’ow’e Megiddo | omu, |
22 rn’ow’e Kedesi | omu, |
ne kabaka w’e Yokuneamu ku Kalumeeri | omu, |
23 sne kabaka w’e Doli ku lusozi Doli | omu, |
ne kabaka w’e Goyiyimu mu Girugaali ▼ ▼Girugaali Si y’omu ne Girugaali oli aliraanye Yeriko | omu, |
24 un’ow’e Tiruza | omu. |
Bonna awamu bakabaka amakumi asatu mu omu. |
Copyright information for
LugEEEE