Psalms 23
Zabbuli ya Dawudi.
1 a Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.2 bAngalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto.
Antwala awali amazzi amateefu.
3 cAkomyawo emmeeme yange.
Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu
olw’erinnya lye.
4 dNewaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;
kubanga ggwe oli nange.
Oluga lwo n’omuggo gwo
bye binsanyusa.
5 eOnsosootolera emmere
abalabe bange nga balaba;
onsiize amafuta ku mutwe, ▼
▼Okusiiga omuntu amafuta ku mutwe, kaali kabonero akalaga nti omugenyi ayanirizibbwa ku mukolo.
ekikompe kyange kiyiwa.
6Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nange
ennaku zonna ez’obulamu bwange;
nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama,
ennaku zonna.
Copyright information for
LugEEEE