Psalms 26
Zabbuli ya Dawudi.
1 aOnnejjeereze, Ayi Mukama,kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,
nga sibuusabuusa.
2 bNeetegereza, Ayi Mukama, ongezese;
weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
3 cKubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,
era mu mazima go mwe ntambulira.
4 dSituula na bantu balimba,
so siteesaganya na bakuusa.
5 eNkyawa ekibiina ky’aboonoonyi;
so situula na bakozi ba bibi.
6 fNaaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango; ▼
▼Okunaaba mu ngalo mu lujjudde, kaali kabonero akalaga ng’omuntu oyo bw’atalina musango
ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;
7 hne nnyimba oluyimba olw’okwebaza,
olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
8 iEnnyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama,
kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
9 jTombalira mu boonoonyi,
wadde mu batemu,
10 kabakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi,
era abali b’enguzi.
11 lNaye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa;
nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.
12 mNnyimiridde watereevu.
Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.
Copyright information for
LugEEEE