‏ Psalms 72

Zabbuli ya Sulemaani.

1Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya,
ne mutabani we omuwe obutuukirivu,
2 aalyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu,
n’abaavu abalamulenga mu mazima.

3Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana
n’obusozi bubaleetere obutuukirivu.
4 bAnaalwaniriranga abaavu,
n’atereeza abaana b’abo abeetaaga,
n’omujoozi n’amusaanyaawo.
5Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma
okwaka mu mirembe gyonna.
6 cAbeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa,
afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.
7 dObutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe,
n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!

8 eAfugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,
Kyalowoozebwanga nti ensi yakomanga ku Nnyanja ey’Omunnyo okumpi n’Ennyanja Ennene, eya Meditereniyaani.

n’okuva ku mugga Fulaati
Omugga Fulaati gwe gwali ensalo ku luuyi olw’ebuvanjuba bwa Isirayiri, mu bufuzi bwa Sulemaani. Kyali kyasuubizibwa Abayisirayiri mu biro eby’okuva mu Misiri.
okutuuka ku nkomerero z’ensi!
9Ebika eby’omu malungu bimugonderenga,
n’abalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.
10 hBakabaka b’e Talusiisi
Talusiisi kyali mu Esupaniya, era eyo ye yalowoozebwa okuba enkomerero y’ensi.
n’ab’oku bizinga eby’ewala
bamuwenga omusolo;
bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba
Syeba kiri mu Buwalabu, ate Seeba kiri mu Afirika.

bamutonerenga ebirabo.
11Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge;
amawanga gonna ganaamuweerezanga.

12Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga,
n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi.
13Anaasaasiranga omunafu n’omwavu;
n’awonya obulamu bwa kateeyamba.
14 kAnaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe;
kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali.

15 lAwangaale!
Aleeterwe zaabu okuva e Syeba.
Abantu bamwegayiririrenga
era bamusabirenga emikisa buli lunaku.
16 mEŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi,
ebikke n’entikko z’ensozi.
Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni;
n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale.
17 nErinnya lye libeerengawo ennaku zonna,
n’okwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ng’enjuba.

Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lw’erinnya lye,
era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.

18 o Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri,
oyo yekka akola ebyewuunyisa.
19 pErinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe!
Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye.
Amiina era Amiina!


20Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo.
Copyright information for LugEEEE