Revelation of John 2
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Efeso
1 a “Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Efeso wandiika nti:Bw’ati bw’ayogera oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu ngalo ze mu mukono gwe ogwa ddyo, oyo atambulira wakati w’ebikondo by’ettaala omusanvu ebya zaabu.
2 b Nti mmanyi ebikolwa byo n’okugumiikiriza kwo, era nga tosobola kugumiikiriza bakozi ba bibi era ng’ogezesezza abo abeeyita abatume n’obavumbula nga balimba. 3 cEra ogumiikirizza okubonaabona n’oguma olw’erinnya lyange, n’otokoowa.
4 d Naye nnina ensonga gye nkuvunaana: tokyanjagala nga bwe wanjagalanga edda. 5 eNoolwekyo jjukira we waseeseetuka. Weenenye, onjagale nga bwe wanjagalanga edda. Naye bw’otookole bw’otyo ndijja gy’oli ne nzigyawo ekikondo ky’ettaala yo mu kifo kyakyo, okuggyako nga weenenya. 6 fWabula ekirungi ekikuliko kye kino: okyawa ebikolwa by’Abanikolayiti ▼
▼Abanikolayiti kyali kibinja ky’abantu mu kkanisa ekyali kisizza ekimu n’abakaafiri abaasinzanga ebifaananyi. Baayigirizanga nti Omwoyo yabakkiriza okusinza ebifaananyi n’okukola ebikolwa eby’obugwagwa
nga nange bwe mbikyawa. 7 h Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogw’obulamu oguli mu nnimiro ya Katonda.
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Sumuna
8 i “Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Sumuna wandiika nti:Bw’ati bw’ayogera Owoolubereberye era Owenkomerero eyali afudde oluvannyuma n’azuukira n’aba mulamu, 9 jnti mmanyi okubonaabona kwo n’obwavu bwo, naye ng’oli mugagga, era n’okulimirira kw’abo abeeyita Abayudaaya songa ssi Bayudaaya, wabula kuŋŋaaniro lya Setaani. 10 kTemutya n’akatono ebyo bye mugenda okubonaabona. Laba Setaani anaatera okusiba abamu ku mmwe mu makomera okubagezesa. Muliyigganyizibwa okumala ennaku kumi ddamba. Mubeere beesigwa okutuusa okufa, nange ndibawa engule ey’obulamu.
11 l Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula talifa mulundi gwakubiri.
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Perugamo
12 m “Eri malayika ow’Ekkanisa ey’e Perugamo wandiika nti:Bw’ati bw’ayogera oyo alina ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri 13 nnti, Mmanyi gy’obeera awo awali entebe y’obwakabaka bwa Setaani, kyokka ng’onywezezza erinnya lyange era wasigala n’okukkiriza kwo, ne mu biseera Antipa omujulirwa wange omwesigwa mwe yattirwa wakati mu mmwe, eyo Setaani gy’abeera.
14 o Naye nkulinako ensonga ntono: eyo olinayo ab’enjigiriza eya Balamu eyayigiriza Balaki okutega abaana ba Isirayiri omutego n’abaliisa ennyama ey’omuzizo eyassaddaakirwa eri bakatonda abalala, era n’okwenda. 15 pAte era olinayo n’abakkiririza mu njigiriza y’Abanikolayiti. 16 qNoolwekyo weenenye, bw’otookikole ndijja mangu ne nnwanyisa abantu abo n’ekitala eky’omu kamwa kange.
17 r Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa. Era ndimuwa ejjinja eryeru eriwandiikiddwako erinnya eriggya eritamanyiddwa muntu mulala yenna wabula oyo aliweereddwa.”
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Suwatira
18 s “Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Suwatira wandiika nti:Bw’ati bw’ayogera Omwana wa Katonda, oyo alina amaaso agali ng’ennimi ez’omuliro, n’ebigere ebimasamasa ng’ekikomo ekizigule 19 tnti, Mmanyi ebikolwa byo, n’okwagala kwo, n’okukkiriza kwo, n’obutuukirivu bwo, n’okugumiikiriza kwo, era n’ebikolwa byo eby’oluvannyuma bisinga ebyasooka.
20 u Kyokka nkulinako ensonga eno. Ogumiikiriza omukazi Yezeberi eyeeyita nnabbi omukazi akyamya abaweereza bange ng’abayigiriza obwenzi n’okulya emmere eweereddwayo eri bakatonda abalala. 21 vNamuwa ekiseera yeenenye, kyokka tayagala kwenenya bwenzi bwe. 22 wLaba, ndimulwaza obulwadde obulimusuula ku ndiri, era n’abo baayenda nabo mbatuuse ku bulumi obw’amaanyi, okuggyako nga beenenyezza ebikolwa byabwe. 23 xEra nditta abaana be. Olwo Ekkanisa zonna ziryoke zitegeere nti nkebera emitima n’ebirowoozo era ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri.
24 y Kale mmwe abalala abali mu Suwatira abatagoberera kuyigiriza kuno abatamanyi bintu bya Setaani eby’obuziba ng’enjogera bw’egamba, sigenda kubassaako mugugu mulala. 25 zWabula munyweze nnyo kye mulina okutuusa lwe ndijja.
26 aa Oyo aliwangula era n’oyo alisigala ng’akola emirimu gyange okutuusa ku nkomerero, ndimuwa obuyinza okufuga amawanga. 27 ab‘Alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma, n’abayasaayasa ng’ayasaayasa ebibya eby’ebbumba.’ 28 acEra ndimuwa emmunyeenye ey’enkya nga nange bwe nagiweebwa Kitange. 29 adAlina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.
Copyright information for
LugEEEE