Revelation of John 8
Akabonero k’Envumbo ak’Omusanvu n’Ekyoterezo ekya Zaabu
1 aAwo Omwana gw’Endiga bwe yabembulula akabonero k’envumbo ak’omusanvu ne wabaawo akasiriikiriro mu ggulu lyonna okumala ng’ekitundu ky’essaawa.2 bNe ndaba bamalayika omusanvu abaali bayimiridde mu maaso ga Katonda ne baweebwa amakondeere musanvu.
3 cAwo malayika omulala eyalina ekyoterezo ekya zaabu n’ajja n’ayimirira okuliraana ekyoto, n’aweebwa obubaane bungi nnyo abuweeyo, wamu n’okusaba kw’abatukuvu bonna, ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g’entebe ey’obwakabaka. 4 dAkaloosa akalungi n’omukka ebyava mu bubaane obutabuddwamu n’okusaba kw’abatukuvu ne kambuka eri Katonda nga kava mu kyoto malayika mwe yabufuka. 5 eMalayika n’addira ekyoterezo n’akijjuza omuliro gw’aggye ku kyoto n’aguyiwa wansi ku nsi, ne wabaawo okubwatuka, n’okuwuluguma, n’okwakaayakana, n’okumyansa kw’eggulu era ne wabaawo ne musisi.
Abafuuyi b’Amakondeere
6 fAwo bamalayika omusanvu abaalina amakondeere omusanvu ne beetegeka okufuuwa amakondeere gaabwe.7 gMalayika ow’olubereberye n’afuuwa ekkondeere lye, omuzira n’omuliro nga byetabudde n’omusaayi ne bisuulibwa wansi ku nsi. Ekitundu ekyokusatu eky’ensi ne kiggya omuliro, bwe kityo n’ekitundu kimu kya kusatu eky’emiti ne kiggya omuliro, n’omuddo gwonna ne guggya.
8 hMalayika owookubiri n’afuuwa ekkondeere lye, ekintu ekinene ennyo nga kifaanana ng’olusozi olunene ennyo nga lwonna lwaka omuliro ne kisuulibwa mu nnyanja. Ekitundu ekimu ekyokusatu ekyennyanja ne kifuuka omusaayi, 9 in’ekimu ekyokusatu eky’ebitonde eby’omu nnyanja ne kifa, n’ekitundu ekimu ekyokusatu eky’amaato ne kizikirira.
10 jMalayika owookusatu n’afuuwa ekkondeere lye, emmunyeenye ennene eyakaayakana n’egwa okuva mu ggulu, n’egwa mu kitundu ekimu ekyokusatu eky’emigga n’ensulo z’amazzi. 11 kEmmunyeenye eyo yali eyitibwa “Kukaawa” n’etteeka obutwa mu kitundu ekimu ekyokusatu eky’amazzi gonna, abantu bangi ne bafa.
12 lMalayika owookuna n’afuuwa ekkondeere lye, ekitundu ekimu ekyokusatu eky’enjuba n’ekimu ekyokusatu eky’omwezi, n’ekimu ekyokusatu eky’emmunyeenye, ne bikubwa; era ekyavaamu, obudde obw’emisana ne buzikirako ekitundu ekimu ekyokusatu, n’ekiro ne kyeyongera okukwata ekitundu ekimu ekyokusatu, n’omusana ne gulema okwaka ekitundu ekimu ekyokusatu, n’ekizikiza ne kyeyongera bwe kityo.
13 mNe ndaba empungu emu ng’ebuuka mu bbanga ng’ereekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Zibasanze, Zibasanze, Zibasanze abantu ab’oku nsi olw’ebintu eby’entiisa ebinaatera okubatuukako kubanga bamalayika abasatu abasigaddeyo banaatera okufuuwa amakondeere gaabwe.”
Copyright information for
LugEEEE