Song of Solomon 8
1Singa wali muganda wange eyakuzibwa mmangeera eyayonka amabeere ga mmange,
nandikusanze ebweru
nandikunywegedde
ne wataba n’omu annyooma.
2 aNandikukulembedde
ne nkuleeta mu nnyumba ya mmange,
oyo eyangigiriza.
Nandikuwadde wayini okunywa ng’alimu ebyakaloosa,
omubisi ogw’amakomamawanga gange.
3 bOmukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange
n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambaatira.
4 cMmwe abawala ba Yerusaalemi mbakuutira,
temusiikuula newaakubadde okuzuukusa okwagala
okutuusa ng’ekiseera ekituufu kituuse.
Abemikwano
5 dAni oyo gwe tulengera ng’ava mu ddungu
nga yeesigamye muganzi we?
Omwagalwa
Nakuzuukusa ng’oli wansi w’omuti ogw’omucungwa.
Eyo maama wo gye yafunira olubuto era eyo
maama wo gye yakuzaalira mu bulumi obungi.
6 eNteeka ng’akabonero ku mutima gwo,
era ng’akabonero ku mukono gwo,
kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa,
obuggya bwakwo buli ng’obusungu obw’emagombe.
Kwaka ng’ennimi ez’omuliro,
omuliro ogwaka n’amaanyi ennyo.
7 fAmazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala
n’emigga tegiyinza kukumalawo.
Singa omuntu awaayo
obugagga bwe bwonna obw’ennyumba ye okufuna okwagala,
asekererwa nnyo.
Abemikwano
8Tulina muto waffe
atannamera mabeere,
naye tulikola tutya
bw’alituuka okwogerezebwa?
9Singa abadde bbugwe
twandimuzimbyeko eminaala egya ffeeza,
singa abadde luggi
twandimuggalidde na mivule.
Omwagalwa
10Ndi bbugwe
era n’amabeere gange gali ng’ekitikkiro,
noolwekyo mu maaso ge,
mmufuukidde aleeta emirembe.
11 gSulemaani yalina ennimiro y’emizabbibu e Baaluka Kamooni,
n’agisigira abalimi.
Buli omu ku bo yamusalira
ebitundu bya ffeeza lukumi.
12 hEnnimiro yange ey’emizabbibu, yange,
ebitundu olukumi bibyo ggwe Sulemaani,
ebitundu ebikumi bibiri by’abo abalabirira ennimiro.
Owoomukwano
13Ggwe abeera mu nnimiro
ne mikwano gyo nga weebali,
ka mpulire eddoboozi lyo.
Omwagalwa
14 iYanguwa okuvaayo eyo,
odduke mangu ng’empeewo
oba ng’ennangaazi ento,
oddukire ku nsozi ezijjudde ebyakaloosa.
Copyright information for
LugEEEE