‏ Zechariah 13

1 a“Ku lunaku olwo ensulo z’amazzi ziriggulirwa ennyumba ya Dawudi n’abatuuze b’omu Yerusaalemi okubatukuza okuva mu kibi n’obutali bulongoofu.

2 b“Ku lunaku olwo, ndiggya amannya ga bakatonda abalala okuva mu nsi, galeme kuddayo kujjukirwa, era nzigye bannabbi n’omwoyo ogutali mulongoofu mu nsi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 3 cEra singa omuntu yenna awa obunnabbi, kitaawe ne nnyina abamuzaala bennyini balimugamba nti, “Oteekwa kufa kubanga oyogedde eby’obulimba mu linnya lya Mukama.” Bw’aliwa obunnabbi, bakadde be bennyini bamufumitanga.

4 d“Ku lunaku olwo buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olw’okwolesebwa kwe okw’obulimba; era tebalyambala kyambalo kyabwe eky’ebyoya okulimba abantu. 5 eAligamba nti, ‘Siri nnabbi nze, ndi mulimi bulimi; era mu nnimiro mwe nkoledde emirimu gyange obulamu bwange bwonna.’ 6Era singa omuntu bamubuuza nti, ‘Ate bino ebiwundu ebiri ku mubiri gwo bya ki?’ Aliddamu nti, ‘Ebiwundu n’abifunira mu nnyumba ya mikwano gyange.’ ”

Isirayiri Ebonerezebwa

7 f“Zuukuka, ggwe ekitala olwanyise omusumba wange,
olwane n’omusajja annyimirira ku lusegere,”
bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
“Kuba omusumba
endiga zisaasaane
nange ndiyimusa omukono gwange ku baana abato.
8 gMu nsi yonna,” bw’ayogera Mukama,
“bibiri bya kusatu bye birikubwa bisaanewo,
naye kimu kya kusatu kye kirisigalamu.
9 hEkitundu kino eky’ekimu ekyokusatu ndikireeta mu muliro,
ne mbalongoosa ng’effeeza bw’erongoosebwa
mbagezese nga zaabu bw’egezesebwa.
Balikoowoola erinnya lyange
nange ndibaanukula.
Ndigamba nti, ‘Bantu bange,’
era nabo baliddamu nti, ‘Mukama ye Katonda waffe.’ ”
Copyright information for LugEEEE